Proverbs 21

1Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama,
era agukyusiza gy’ayagala yonna.

2 aBuli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,
naye Mukama apima omutima.

3 bOkukola ebituufu n’eby’amazima
kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.

4 cAmaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala,
ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.

5 dEnteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere,
naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.

6 eOkufuna obugagga n’olulimi olulimba,
mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.

7Obukambwe bw’ababi bulibamalawo,
kubanga bagaana okukola eby’ensonga.

8 fEkkubo ly’abazza emisango liba kyamu,
naye ery’abataliiko musango liba golokofu.

9 gOkusula ku kasolya k’ennyumba,
kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.

10Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi;
talaga muliraanwa we kisa n’akatono.

11 hOmukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna;
n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.

12 iKatonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.

13 jOyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
naye alikoowoola nga talina amwanukula.

14 kEkirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.

15 lEnsonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu,
naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.

16 mOmuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera,
agukira mu bafu.

17 nAganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo
ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.

18 oAbakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi,
n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.

19 pOkubeera mu ddungu,
kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.

20Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo,
naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.

21 qAgoberera obutuukirivu n’ekisa,
alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.

22 rOmuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige,
era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.

23 sAfuga akamwa ke n’olulimi lwe,
yeewoonya emitawaana.

24 t“Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga,
abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.

25 uOkwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe,
kubanga emikono gye tegyagala kukola.

26 vOlunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako,
naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.

27 wSsaddaaka y’omubi ya muzizo,
na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.

28 xOmujulizi ow’obulimba alizikirira,
naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.

29Omuntu omubi yeekazaakaza,
naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.

30 yTewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso
ebiyinza okulemesa Mukama.

31 zEmbalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo,
naye obuwanguzi buva eri Mukama.
Copyright information for LugEEEE